Amawulire
UNRA etaddewo olutindo lwékiseera e Katonga
Bya Rita Kemigisa,
Ekitongole ekivunanyizibwa ku byenguudo mu ggwanga ki Uganda National Roads Authority (UNRA) kitadewo olutindo olwa kaseera ku mugga Katonga okulaba nti abalamazi abalina okukozesa oluguudo lwa Masaka-Kampala basomoka.
Kino kidiridde ekibinja kya balamazi 75 okuva mu kigo kye Kakoma e Isingiro okukonkomalira e Kalungu olwo lutindo olwa gwamu oluvanyuma lwomugga Katonga okubooga.
Oluvannyuma lw’okutambula kiromita ezisoba mu 220, abalamazi abasimbye amakanda e Lukaya baategeeza nti si bakudda mabega gyebaava oba okukozesa oluguudo lwa Ssembabule okudda e Mpigi.
Wabula omwogezi wa UNRA, Allan Ssempebwa ategeezeza Dembe FM nti kati abalamazi ab’ebigere basobola okusomoka omugga Katonga oluvannyuma lwokubateerawo olutindo olwekiseera.
Era akakasiza nti olutindo luno ku batambuza ebigere lwakusigalawo lukozesebwe abalamazi nga bamaze okulamaga e Namugongo nga June 3rd.
Mungeri yemu Ssempebwa aggumiza abakozesa emotoka nti mu bbanga lya ssabiiti 3 olutindo lwa Katonga lujja kuba luweddo emirimu gitaddemu okutambula obulungi ku luguudo luno.