Amawulire

Abatuuze e Namutumba ge bakaaba ge bakomba oluvanyuma lwénkuba olw’onoona ebintu

Abatuuze e Namutumba ge bakaaba ge bakomba oluvanyuma lwénkuba olw’onoona ebintu

Ivan Ssenabulya

June 20th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abatuuze abawerako ku byalo bibiri mu town council y’e Ivukura e Namutumba ge bakaaba gebakomba oluvannyuma lw’enkuba efudembye neeleka ebintu byabwe nga bisaanyeewo.

Moses Kyuka omutuuze ku kyalo Bwite B agamba nti enkuba eno yasse embuzize ttaano, enkoko kkumi na bbiri neeleka ebirime nólusuku lwe kuttaka.

Anyonyodde nti ennyumba ye yatikuddwako akasolya mu kibuyaga eyakuunse.

James Maganda omutuuze mu muluka gw’e Bugabula mu town council y’e Ivukura ategeezezza nti ennimiro z’omuceere eziweza yiika 3 ogubadde gunatera okukungulwa zaasanyeewo.

Balikudembe Mulondo ssentebe w’ekigo ky’e Bugabula asabye minisitule evunaanyizibwa ku biggwa bitalaze okuddukirira abatuuze kuba kiri bubi.