Amawulire
Abéddembe lyóbuntu basabye amawanga okuyambako Uganda mu kulwanyisa obutujju
Bya Juliet Nalwooga,
Akakiiko akalwanirira eddembe lyóbuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission kasabye abakulembeze b’ensi yonna okwegatta ku maggye ga Uganda mu kulwanyisa obutujju.
Kino kiddiridde abayekera ba ADF okulumba essomero lya siniya e Mpondwe – Lhubiriha Town Council ku wiikendi nebatta abantu abasoba mu 40 ng’abasinga bayizi.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala, ssentebe w’akakiiko kano, Mariam Wangandya ategeezezza nti obutujju bwa bulabe mu nsi yonna eri demokulasiya, enfuga y’amateeka, enkulaakulana mu by’enfuna, eddembe ly’obuntu, n’obutebenkevu nasaba wabeewo obwangu okwenganga ebikolwa ebyóbutujju okwewala ebiyinza okudirira.
Era awadde famire ezifiiriddwa amagezi okutwala gavumenti mu kkooti, bwe baba baagala, olw’okulemererwa okukuuma bannansi baayo okuva eri ebikolwa ebyóbutujju ng’agamba nti ekyókuliyirira famile za bafudde na bakosebwa tekimala.