Amawulire

Abattemu balumbye Famile ne batta abantu bataano

Abattemu balumbye Famile ne batta abantu bataano

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2023

No comments

Bya Malik Fahad,

Poliisi e Masaka etandise okunoonyereza ku mbeera abantu abatannategeerekeka mwe balumbye famire ne batta abantu bataano.

Abafudde ye ssemaka, Emanuel Mutesasira57, ne mukyala we Proscovia Ndagano 52, bazzukulu baabwe, okuli Nakavuma 13, Nakasagga shifan 5, Kayemba ow’emyaka 2 ne kitundu.

Bino bibadde ku kyalo Kijonjo, mugombolola ye buwunga mu disitulikiti y’e Masaka.

Okusinzira ku bantu b’omu kitundu kino baguddemu ensisi okusanga batuuze bannaabwe nga bali mu kitaba ky’omusaayi oluvannyuma.

Sipiika wa disitulikiti y’e Masaka era nga yaliko ssentebe wegombolola ye buwunga, Francis Kimuli alaze okunyolwa olwekikolwa kino naasaba poliisi ekole ekisoboka okufuna abali emabega w’ettemu lino.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Twaha Kasirye akakasizza bino n’agamba nti okunoonyereza kwa poliisi ku nsonga eno kutandise.

Emirambo gy’abafu gitwaliddwa mu ddwaaliro lya masaka regional referral hospital okwekebejjebwa ng’okunoonyereza ku butemu buno bwekugenda mu maaso.