Amawulire
Abayizi e Kamuli beekalakaasiza lwábasomesa abakyusibwa
Bya Abubaker Kirunda,
Abayizi kusomero lya St. Paul Mbulamuti senior secondary school e Kamuli bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ekyokukyusa abasomesa babwe.
Abayizi banenya omukulu wessomero lino okuba nti yali emabega wentakteeka ezokusengula abasomesa babwe.
Abayizi bano okwekalakaasa kwabwe bakutademu efujjo bagadde geeti ye somero okukasuka amayinja munda mussomero.
Poliisi eyitibwa bukubirire wabula eremereddwa okukakanya abayizi bano babadde batamye obugo wabula poliisi okuva ku CPS e Kamuli yegasse ku banabwe ne bakakanya abayizi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Busoga north Michael Kasadha akakasiza amawulire gano nategeeza nti poliisi esobodde okutaasa ebintu bye ssomero obutonoonebwa.