Amawulire

Poliisi enonyereeza ekiviriddeko Omuliro ogukutte essomero lya Hildergaurd e Masaka

Poliisi enonyereeza ekiviriddeko Omuliro ogukutte essomero lya Hildergaurd e Masaka

Ivan Ssenabulya

July 5th, 2023

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Poliisi mu disitulikiti y’e Masaka etandise okunonyereza okuzuula kiki ekivuddeko omuliro ogukutte essomero lya Hilderguard P/S Nabugabo elisangibwa mu gombolora ye Bukakata mu kiro ekikeseza olunaku olwaleero.

Kitegerekesse nti abayizi abasula mukisulo ekikutte omuliro, ebintu byabwe byonna bisanyizidwawo omuliriro era eky’omukisa abayizi babadde bali mukusoma kwokumakya tewali afunye buzibu.

Wasswa William ssentebe w’ekibiina kya National unity Platform mu gombolora ye Bukakata omu kubadukiridde, ategezeza nti kyandiba waliwo omuntu owomutima omubbi ayokyeza ekissulo ky’abayizi.

amyuka akulira essomero lino Zaituni Nanyonga  agambye wadde abatwala essomero bagezezaako okutegeeza police mu budde naye bewunyiza okuleeta emmotoka enkalu ettaliimu mazzi ekiretedde ebintu byabayizi okusanaawo.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka Twaha Kasirye agamba batandisse okunonyereza kukivudeko omuliro guno era bakutandikira mukwekebejja kamera eziri kusomero.