Skip to content Skip to footer

Omubaka Semuju Nganda ku mpaka afulumiziddwa palamenti

Nganda

Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti beekendazze nebafuluma olukiiko olukulu olw’eggwanga

Kiddiridde amyuka spiika Jacob Olanya okulagira abasilikale ba palamenti okuwalawala omubaka Ibrahim Semuju Nganda okumufulumya mu palamenti

Ono asoose kugaana kwetonda ekinyizizza Olanya

Nganda yali yawummuzibwa okumala entuula ssatu nga tateesa era olwaleero lw’akomyeewo kyokka nga bamulagidde nti okuteesa amala kwetondanaye ky’agaanye ng’agamba nti yamaze okukola ekibonerezo kye

Wano abasilikale webamukimidde nebamuwalawala okumufulumya ebweru ekiggye babaka banne mu mbeera

Leave a comment

0.0/5