Amawulire

Omusango gwa Minisita Lugoloobi teguwuliddwa

Omusango gwa Minisita Lugoloobi teguwuliddwa

Ivan Ssenabulya

August 22nd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Okuwulira omusango oguvunaanibwa Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Amos Lugoloobi kwongezebwayo okutuuka nga 16th October 2023 olw’a mulamuzi Margaret Tibulya aguli mitambo obutalabikako.

Minisita Lugoloobi avunaanibwa emisango 2 egy’okozesa obubi obuyambi bwámabaati agalina okujuna abantu bé karamoja abali mu mbeera embi.

Nga 8th August 2023 Lugoloobi yalabikako mu Kkooti n’eyegaana okubulankanya amabaati agasoba mu 700 okuva mu yafeesi ya ssabaminisita.

Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa February 2022, March ne July 2023 ku tterekero lya offiisi ya ssabaminisita e Namanve ne mu maka ga minisita e Matuuga ne Ntejeru e Kayuguga, Lugolobi yasangibwa námabaati 700 agaliko akabonero ka gavumenti ekyavaako okufiiriza gavumenti.

Lugolobi y’omu ku baminisita abasatu abakwatibwako era nebavunaanibwa omusango gw’okubba amabaati agagulibwa yafeesi ya ssabaminisita gatwalibwe e Karamoja.

Baminisita abalala ye Mary Gorreth Kitutu n’omumyuka we Agnes Nandutu.