Bya Benjamin Jumbe
Ekibiina ekrera eddembe lyabanawmulire ekya Human Rights Network for Journalists Uganda, kirangirirdde nga bwekigenda mu kooti, okuwawabira akakiiko akebyempuliziganya aka Uganda Communications Commission olwokulemesa, emikutu gyamwulire okuwereza buterevu ebyabadde bigenda mu maaso ku palamenti.
UCC olunnaku lwe ggulo, yafulimizza ekiwandiiko nga bagamba nti amawuliro ga palamenti gabadde gatekeddwa okusooka okusunsulwa, ssi kumala gagaleeta, ekyabadde kikoma omuliro mu bantu.
Omukwanaganya wemirimu mu HRNJ, Robert Ssempala agambye nti akawyiro 41 ake tteeka lyebyempuliziganya eryomwaka 2013 kalinyiriddwa.