Amawulire
Minisita Amongi arabudde amakampuni kunsimbi z’abakozi
Bya Moses Ndaye,
Gavumenti eragidde kkampuni eziweereddwa kontulakiti mu kitongole ky’amafuta ne ggaasi okulaba nga zisasulira abakozi baazo omutemwa ogulina okugenda mu kitongole ekitereka ekitavu kya bakozi mu ggwanga ekya NSSF
Minisita avunaanyizibwa ku mirimu, ekikula ky’abantu n’enkulaakulana y’embeera z’abantu Betty Among agamba nti muno mulimu amakampuni amatono n’amanene agalina abakozi ab’enkalakkalira oba ab’ekiseera kale nga balina okugondera amateeka.
Agamba nti kkampuni zino ziweereddwa emyezi 6 okugoberera amateeka g’eggwanga agakwata ku nsimbi za bakozi
Bino abyogeredde mu kwogerako n’abakulembeze ba kkampuni ez’enjawulo okuva mu kitongole ky’amafuta ne ggaasi, nga mu kiseera kino ekitongole kya National Social Security Fund kimanyisa abakozi okugoberera amateeka nga bassa ekitiibwa mu ddembe ly’abakozi.