Amawulire

Sipiika awera nti wakulemesa okukakasibwa kwábaminisita abatagenda mu ntuula

Sipiika awera nti wakulemesa okukakasibwa kwábaminisita abatagenda mu ntuula

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omukubiriza wólukiiko lwéggwanga olukulu atiisatiisiza nga bwagenda okulemesa okukakasibwa kwábaminisita abanaba balondebwa omukulembeze.

Anita Among, aweze nti minisita yenna agenda okuleetebwa mu kakiiko ka palamenti akekenenya ababa balondebwa pulezidenti nga abadde batuula mu nkiiko za palamenti si wakusunsulwa.

Bino abyogedde ng’aggulawo olukiiko lwa leero era n’asaba pulezidenti nti alowooze kungeri baminisita bano gye bakolamu emirimu nga tanasindika maanya gaabwe mu kakiiko akabasusnula.

Sipiika era ategeezezza nga bwe bagenda okuweereza olukalala lwa baminisita ababadde bagenda mu palamenti eri Ssaabaminisita asobole okulaba emirundi emeka buli minisita gy’asobodde okwetaba muntuula.

Mungeri yemu ategezezza nga bwakimanyi nti waliwo baminisita abamu abebulankanya mu ntuula za palamenti olwokuba yeyaba agenda okuzikubiriza nagamba nti kino bakola kyabutaliimu, balina kuweereza ggwanga.