Skip to content Skip to footer

Abawandiisi ba kkooti n’abalamuzi bakyusiddwa

Kisawuzi

Omuwandiisi wa kkooti enkulu  akoze enkyukakyuka mu balamuzi nga era abalamuzi 31 n’abawandiisi ba kkooti bakyusiddwa.

Abadde omuwandiisi wa kkooti enkulu Roy Byaruhanga asuulidwa n’asikizibwa  Tom Chemutai abadde akola nga omuwandiisi mu kkooti yokuntikko.

 

Deo Nizeyimana asiddwa eddaala okuva ku muwandiisi wa kkooti ejulirwamu n’azzibwa ku ky’obulambuzi bw’amakkooti n’asikizibwa Amos Kwizera.

Omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda Rod Araali Muhirwa asigaddeyo naye nga waakukola ku misango mirondemu.

 

Mary Khainza ajiddwa mu kkooti ejulirwamu n’asindikibwa e Jinja nga omulamuzi omukulu era omumyuka w’omuwandiisi.

 

Omwogezi w’essiga eddamuzi Erias Kisawuzi agamba enkyukakyuka zino zigendereddwamu kutumbula mpeereza ya mirimu mu ssiga eddamuzi.

Leave a comment

0.0/5