Amawulire
Agambibwa okuyambako aba ADF yewaddeyo eri abébyókwerinda
Bya Mike Sebalu,
Agambibwa okuba nga abadde ayambako abatujju ba ADF mu disitulikiti ye Rubirizi yewadeyo eri abebyokwerinda.
Ono ategerekese nga William Byaruhanga ow’emyaka 30 era nga yaliko omutuuze w’e Busunga trading centre mu disitulikiti y’e Bundibugyo.
Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Byaruhanga yeewaddeyo eri abaserikale ba UPDF mu kigo ky’e Kafulo Kyanzaza mugombolola ye Kirugu mu disitulikiti y’e Rubirizi olunaku lw’eggulo.
Mungeri yemu Enanga ategezeza nga bwewaliwo nómuyekera wa M23 rebel agombedwamu obwala e Kisoro ngóno abadde ayingidde eggwanga ne mmundu okuva e Congo