Bya Damali Mukhaye.
Ate Oluvanyuma lw’okukwatibwa kwa Ssentebe wa NRM e Rubanga era akulira Bodaboda 2010 Abdul Kittta, bbo banna-NRM e Rubaga baagala kutandika kaweewefube wakumujjamu bwesige.
Kinajukirwa nti omukulu ono yakwatiddwa amagye ge gwanga kubigambibwa nti alina akakwate kubutemu obuzze bukolebwa mu gwanga.
Twogedeko ne Ronald Ssengozi nga ono ye ssentebe w’abavubuka e Rubaga n’agamba nti ono kati tebakyayinza ku mwesiga, kale nga bagenda kuwandiikira ekitebe kya NRM okuyingira mu nsonga eno.
