Bya Samuel Ssebuliba.
Mumalala Parliament ekirizza government okwewola ensimbi obukadde bwa dolla 26 nga zino zakukosebwa mukumaliririza omulimo ogw’okuyonja kampala wansi wa Kampala Sanitation Program.
Kinajukirwa nti mu mwaka gwa 2009, Government yewola ensimbi okuva mu African Development bank okuzimba emyala, ko n’okuzimba emidumu egitambuza kazambi , kyoka zino ensimbi nezitamala.
Bweyabadde asaba ensimbi zino , minister w’ebyensimbi Matia Kasaijja yagambye nti banka yeemu netegefu okubongera ensimbi zino okusobola okumaliriza Project yonna.
Ono agamba nti phase eno esembayo egenda kuba yakuzimba mwala gw’e Nakivubo , omudumu gwa kazambi ogw’e Bugolobi , ko ne Makerere.
Wabula ye akulira oludda oluvuganya government Winnie Kiiza asabye government obutewolera kampala yokka, wabula nebibuga ebirara.