Bya Damalie Mukhaye.
Wetwogerera nga ministry ekola ku by’enjigiriza etandika okusunsulamu abaaana abagenda kwegatta ku senior esooka nga guno omukolo guli wano e UMA show grounds.
Agavaayo galaga nga amasomero agasinga nadala ganansangwa bwegalemedde kubonero bwegaaliko omwaka oguwedde
Wabula kino kiyinza okukendeeza ku baana abagenda okwegatta ku masomero nga gano, kubanga ebyava mu bibuuzo bino ebya p7 byalaga nti omuwendo gw’abaana abaayitira mu daala erisooka baakendeera newankubadde ab’edaale ly’okubiri nely’okusatu beeyongera.
Amasomero nga Makerere College ne Immaculate Hearts Nyakabale baagala baana abaali wansi w’obunonero 7 ,Sacred Heart School Mudhanga ne Tororo Girls School baagala baali wansi w’obubonero 9 bwokka , St Mary’s College Rushoroza ne Gombe SS baagala obubonero 8 , songa yo Wanyange Girls eyagala abataasussa bubonero 11.