Amawulire
Abayizi béKyambogo baddizibwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira
Bya Ruth Anderah,
Abayizi bana aba Yunivasite y’e Kyambogo abaakwatibwa wiiki ewedde ku luguudo lwa Parliamentary Avenue nga bawakanya eky’okusalawo kwa Bbanka ezimu okuvujirira pulojecti yokuzimba omuddumu gwa mafuta oguva e Uganda okudda e Tanzania baddizibwawo mu kkomera e Luzira.
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Siena Owomugigisha bano yabasindise ku alimanda omulundi ogwokubiri olwomulamuzi Fidelis Otwao akwasaganya omusango guno obutabaawo.
Abana bano kuliko Benjamin Akiso, Wasswa Alex, Abduh Twaib Magambo ne Kajubi Maktum bonna bayizi ku yunivasite y’e Kyambongo.
Oludda oluwaabi lugamba nti bano awamu ne banabwe abalala nga September 15th 2023 ku luguudo lwa Parliamentary Avenue beekalakaasa nga bakutte ebipande ebiwandiikiddwa ebigambo ebivumirira pulojekiti eno ekyasanyalaza ebyentambula ku luguudo luno.
Bano balagiddwa okuddayo mu Kkooti ku Lwokusatu nga September 20th 2023 okuwulira omusango guno