Amawulire

Aba DP bagala etteeka ku kulonda kwóbukiiko bwábakyala likyusibwemu

Aba DP bagala etteeka ku kulonda kwóbukiiko bwábakyala likyusibwemu

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya ekya Democratic Party kisabye gavumenti okukyusa mu tteeka erifuga okulonda obukiiko bwábakyala erya Women Council Act, okukkiriza okulonda kw’abakyala okukolebwa ku lunaku lwe lumu olw’okulonda kwa bonna.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina mu Kampala, Ssaabawandiisi w’ekibiina, Gerald Siranda agambye nti kino kyakuwummuza akakiiko k’ebyokulonda n’abalonzi obukoowu mu kulonda so nga gavumenti egenda kuba ekendeezeza kunsimbi zekozesa mu kutegeka okulonda.

Mungeri y’emu asabye akakiiko kano okwongezaayo ekiseera ky’obukiiko bw’abakyala kituuke ku myaka etaano mu kifo ky’emyaka ena.

Mungeri y’emu Siranda asabye akakiiko okuyingiza ebibiina by’obufuzi mu kulonda kw’abakyala okuva ku byalo okutuuka ku mutendera gwa disitulikiti.

Gyebuvuddeko akakiiko kaayongezaayo okulonda kw’obukiiko bw’abakyala ekisanja kyabwe ekyaggwaako nga July 10th 2023 olw’ebbula ly’ensimbi.