Amawulire

UNEB erabudde abayizi obutakola kyejjo

UNEB erabudde abayizi obutakola kyejjo

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board (UNEB) kirabudde abayizi abegenda okukola ebigezo ebyakamalirizo omwaka guno okwewala  ngeri yonna ey’obutafaayo n’obutaba na mpisa ebiyinza okubaviirako okusubwa ebigezo.

Daniel Odongo, akulira UNEB akoze okulabula kuno bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Uganda Media Center, n’agamba nti tewagenda kubaawo nteekateeka ya njawulo ekolebwa ku bazzizza emisango.

Mu bigezo bya UNEB eby’emyaka egiyise, abayizi 27 aba P7 okuva mu St Catherine Primary School mu Kisiita mu disitulikiti y’e Kakumiro baasubbwa okola ekigezo kyokubala olw’okutuuka ekikeerezi.

Oluvannyuma lw’okuyingira mu nsonga z’abakungu ba gavumenti ab’okuntikko, UNEB yawalirizibwa okubategekera olupapula olw’enjawulo lwe baatuula oluvannyuma.

Kyokka Odongo agamba nti ku mulundi guno, enneeyisa ng’eno tegenda kugumiikirizibwa