Amawulire

Omuyizi eyasobya ku munne esibiddwa emyaka 17

Omuyizi eyasobya ku munne esibiddwa emyaka 17

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omuvubuka owemyaka makumi 23 nga yali muyizi wa siniya kkooti ejulirwamu emulagidde akole ekibonerezo eye myaka 17 nemyezi 6 lwakutuusa gwabuliisa manyi ku muyizi mune owemyaka 18 bwebaali bava ku mukolo gwesomero lyabwe.

Nga ennaku z’omwezi 16th January 1014 kkooti enkulu e Rukungiri nga ekulembeddwamu omulamuzi Andrew Bashaija yasingisa omuvubuka ono Turyasingura Ambrose omusango gwabuliisa manyi era nasibwa emyaka 17 n’emyezi 6.

Omuyizi ono teyamatira nakibonerezo ekyo ng’agamba kyali kinenene nyo kuba omusango yagukola tali mumbeeraaze nti yali atamidde.

Naye abalamuzi 3 nga bakulembeddwamu amyuusa Ssabalamuzi Richard Buteera bagobye okusaba kwe nebamulagira amaleyo ekibonerezo kye ekyamuwebwa kkooti enkulu e Rukungiri.

Wabula kkooti eragidde abamakkomera batandike okubala emyaka ejamusibwa okuva kkooti enkulu lweyamusingisa omusango nga January 16th 2014.

Kigambibwa omusango yaguzza nga September 30th 2011 mu Rukungiri District nga bava ku ssomero lyabwe erya Nyakinoni Secondary School ku ssawa 7;30 pm.