KAMULI
Bya Abubaker Kirunda
Police mu distrct ye Kamuli eriko omusajja owemyaka 50 gwegalidde, oluvanyuma lwokusalako mutabani we owemyaka 12, okugulu nekugwa wali.
James Kalema omutuuze we Gwase mu ggombomola ye Bugaya mu dustrct ye Buyende yakwatiddwa.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Michael Kasadha akaksizza ngomukwate bweyasazeeko mutanai we David Mutekanga okugulu oluvanyuma lwakabenje keyafuna omwezi oguwedde songa okugulu kubadde kweremye okuwona.
Poliisi etegezezza nti okunonyererza kukyagenda mu maaso.