KAMPALA
Bya Moses Kyeyune
Abakwasisa abamateeka aba KCCA bagobye omutembeeyi nagwa wano mu mwala gwe Nakivubo nafa.
Omukazi ono atanaba kugerekeka, abadde atunda butambaala.
Kati oluvanyuma waliwo ekibinja kyabagoba ba boda-boda abazinzeeko ekitebbe kya KCCA, ku City Hall mu Kampala, nga bawakanye engeri eyobukambwe abakozi baabwe gyebayisaamu abantu.
Omulabo gwomuwala gujiddwayo aba Boda Boda nebagutwala ppaka ku kitebbe kya KCCA.
Wabula omwogezi wekitongole kya KCCA, Peter Kauju ategezezza nti mpaawo ensonga bazikwasizza poliisi okunonyereza.
Ategezezza nti KCCA ekungubagidde wamu nabenganda zomugenzi