Bya Gertrude Mutyaba
Namungi w’omuntu yeyiye ku lutikko e Kitovu okukuza amazaalibwa ga Yezu Kristu.
Mu missa gy’ayimbye, omusumba w’essaza ly’e Masaka John Baptist Kaggwa avumiridde embeera eri mu gwanga n’agamba nasaba wabeewo obukakamu nokukaanya kuba Omulokozi azaaliddwa.
Ategeezezza nti abantu bangi bali mu buyinike naye n’asaba bekikwatako bayimukiremu bataase egwanga.
Omusumba Kaggwa era avumiridde bakijambiya abakyalemedde ku ttemu n’asaba Katonda ayambe naddala ekitundu kye Masaka.