Amawulire

Gavt esabiddwa ebeeko kyekola kumuwendo gwa balwadde ba Kookolo

Gavt esabiddwa ebeeko kyekola kumuwendo gwa balwadde ba Kookolo

Ivan Ssenabulya

October 16th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ekitongole kya Uganda Women Cancer Support Organization (UWCASO) kisabye gavumenti okwanguyiriza enkola ya National Cancer Control Policy okukola ku muwendo gw’abalwadde ba kookolo abeeyongera mu bifo eby’enjawulo okwetoloola eggwanga.

Mu nsi yonna, kookolo y’asinga okutta abantu ng’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna (WHO) kibalirira nti abantu obukadde 7.6 baafa kookolo mu 2005 ate abantu obukadde 84 be bagenda okufa mu myaka 10 egijja mu maaso singa tewabaawo tekikolebwa.

Ebibiina kino era ebibalo byakyo biraga nti  ebitundu ebisoba mu 70% ku bantu bonna abafa kookolo bafa mu nsi ezikyakula n’eza wakati, ng’ebikozesebwa ebiriwo okuziyiza, okuzuula n’okujjanjaba kookolo bitono oba tebiriiwo.

Mu Uganda, mu mwaka gwa 2018, abantu nga 32,617 bebaafa kookolo songa 21,829 be baabazuulibwa ekirwadde.

Bammemba ba UWCASO basaba wabeewo enkola y’okulwanyisa kookolo okulaba ng’obujjanjabi bulongoosebbwa.

Betty Nakayenga, omukugu mu kubudaabuda abantu mu kibiina kino ayogeddeko naffe