Amawulire
Museveni agamba teyetaaga kusomesebwa ku bikwata ku kulonda
Bya Ronald Ssenvuma,
PULEZIDENTI Museveni awadde amawanga g’obugwanjuba amagezi obutaddamu kugezaako kumuwa magezi ku ngeri y’okutegekamu okulonda mu ggwanga lino kubanga ye mukugu.
Bwabadde ayogerera mu lukungaana lwa bavubuka abalina kebekoleddewo ku kisaawe e Kololo, Museveni era ategezeza abazungu nga bwatetaaga buwabuzi bwabwe ku bikwata ku bisiyaga agamba nti teyeetaaga kusomesebwa ngeri ya kukwatamu nsonga ng’ezo.
Pulezidenti Museveni era awadde abavubuka amagezi okussa essira ku by’enfuna mu bulamu ng’engeri emu enkakafu ey’okutuuka ku buwanguzi.
Awadde abavubuka amagezi bulijjo okulaba nga basobola okutuukiriza ebyetaago by’obulamu ebisookerwako, okubeera n’obulamu obw’essanyu.