Amawulire

Bannauganda abali ku bitundu ebyókunsalo balabuddwa ku butujju

Bannauganda abali ku bitundu ebyókunsalo balabuddwa ku butujju

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2023

No comments

Bya Kevin Githuku,

Gavumenti ya Uganda ng’eyita mu minisita wébya technologia n’okulungamya eggwanga, Chris Baryomunsi, esabye Bannayuganda ababeera okumpi n’ensalo za Uganda okuloopa ebikolwa byonna bye bayinza okwekengera nga bigenda mu maaso mu bitundu ebibeetoolodde.

Minisita abadde ayogerako eri bannamawulire ku Uganda Media Centre, enkya ya leero, agambye nti okutiisibwatiisibwa kw’ebyokwerinda tekwewalika ku bitundu ebyókunsalo, n’ayongera okulabula bannansi ababeera mu bitundu ebyo okubeera obulindaala ku bigenda mu maaso mu bitundu ebibeetoolodde.

Okulabula kuno kujjidde mu kiseera nga Uganda mu biseera ebiyise efunye okutiisibwatiisibwa kw’obutujju okuwerako naddala okuva mu ba ADF abateeberezebwa okuba abalumbaganyi mu bitundu by’amaserengeta g’e Kasese, n’ebirala.