Amawulire
Abé Nakawa bakukuluma kunsimbi za PDM
Bya Prossy Kisakye,
Abatuuze mugombolola ye Nakawa bekokodde enguzi n’emivuyo egisusse mu Pulogulaamu za Gavumenti ezireetebwa okujja abantu mu bwavu nga bagamba nti kye kiviiriddeko Bannayuganda bangi okulemwa okuzenyigiramu.
Bano okuva mu miruka egy’enjawulo mu Nakawa okuli;Luzira,Mbuya,Kiswa n’awalala basinzidde mu Kiswa mu musomo ogubategekeddwa ku by’okwekulakulanya ne balaga obwennyamivu olw’enguzi esabibwa abamu ku bakungu ba Gavumenti abagaba Ssente eziba zireeteddwa okujja abantu mu bwavu.
Bano banokodeyo pulogulamu ya Parish Development Model, Ssente z’abavubuka n’endala nga bagamba nti omuntu okufuna ku Nsimbi zino asooka kusimba kaggo nga n’abamu babasaba ekyoja mumiro ne balaajanira gavumenti okubasalira Amagezi.
Ye Ssentebe w’omuluka gw’e Kiswa Ssalongo Henry Ssegane asinzidde eno n’alaajanira Gavumenti ku Ssente za Parish Development Model z’agambye nti ziremedde mu Bank wadde ng’abantu abalina okuzifuna baatukiriza dda emisoso gyonna egyetaagisa okuzifuna.
Wabula Omubaka wa Nakawa East Eng.Ronald Balimwezo asinzidde eno n’atabukira abakungu ba Gavumenti abaakwasibwa obuvunaanyizibwa bw’okulondoola Pulojekito za Gavumenti nga bano abayise bassemugayaavu abatafuddeyo kukola mulimo gwabwe.