Ebyobulamu
Okugaba omusaayi- yuniti emitwalo 25 zeezetaagibwa
Ekitongole ekikola ku by’okugaba omusaayi kisuubira okufuna omusaayi oguweza unit 2000 mu kawefube w’okugaba omusaayi agenda okumala wiiki nnamba.
Uganda yetaaga unit z’omuaayi emitwalo 25 okusobola okumalawo ebbula ly’omusaayi mu malwaliro ga gavumenti gonna
Akulira ekitongole kino Dr Dorothy Kyeyune bw’abadde atongoza kawefube ono ku ofiisi z’abakozi mu kampala asabye abantu okuwagira enteekateeka eno nga bayita mu kugaba omusaayi
Dr Kyeyune agamba nti abasinga okwetaaga omusaayi mu kadde kano be baana abalina omusujja gw’ensiri ne ba maama abazaala
Akikkatirizza nti ssinga bafuna omusaayi guno abantu ebitundu 60 ku kikumu baaba bajja kusobola okutaasibwa.
Okugaba omusaayi kugenda mu maaso ku city square mu kampala.