Amawulire

E Buyende abayizi abalenzi bangi tebalabiseeko kukola bigezo bya P.L.E

E Buyende abayizi abalenzi bangi tebalabiseeko kukola bigezo bya P.L.E

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Olunaku olwaleero abayizi ba p7 lwebatandise okukola ebigezo byabwe ebyakamalirizo byebagenda okufundikira olunaku lwenkya.

Okutwalizza awamu ebigezo bitandise bulungi nga okwetoloola eggwanga lyonna tewabadde kutataganyizibwa mungeri emu oba endala.

Abayizi leero bakoze ssomo lya kubala ne SST ne ddiini ate olunaku lwenkya bakukola olungereza ne sayansi

Wabula mu disitulikiti ye buyende, Omuwendo gwa baana abalenzi abatalabiseko kukola bigezo byabwe ebyakamalirizo ebya PLE gwelalikiriza abobuyinza.

Okusinzira kwakulira ebyenjigiriza mu disitulikiti eno, Dison Bwire , beewunyiza okulaba nti bulijjo abaana abawala bebabadde balemererwa okukola ebigezo byabwe naye ku luno omuwendo gwa balenzi abataze kuwandiika bigezo byabwe gubadde muyitirivu.

Ono agamba nti bakunonyereza okumanya ensonga eziziyiza abayizi bano obutakola bigezo.