Amawulire

Okunonyereza ku batta Joan Kagezi kuwedde

Okunonyereza ku batta Joan Kagezi kuwedde

Ivan Ssenabulya

November 20th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah, 

Okunoonyereza ku musango gw’okutta eyali omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi kuwedde.

Bino bitegezedwa omuyambi wa ssaabawaabi ba gavumenti Thomas Jatiko ku kkooti e Nakawa.

Jatiko ategeezezza nti DPP yeetaaga okutuuka nga December 11th 2023 okusoma obujulizi obukung’aanyiziddwa, okubufunza n’okuteekateeka ebiwandiiko basindike abateeberezebwa okutta omugenzi mu kkooti enkulu okuwozesebwa.

Nga November 6th 2023, Kisseka Daniel Kiwanuka, omulimi ow’emyaka 43 omutuuze ku kyalo Nsanvu mu Disitulikiti y’e Kayunga, Kibuuka Yokaana ne Nasur Abudallah Mugonole ne Musajagge Yokaana basimbibbwa mu kkooti ku by’okutta Kagezi.

Bano abana baavunaanibwa emisango ebiri omuli Obutujju n’okutta Kagezi e Kiwatule nga 30th/ March 2015.

Mu kiseera we yattibwa; Joan Kagezi ye yali omuwaabi wa gavumenti eyali akulembeddemu mu musango gw’obutujju ogwaggulwa ku abantu 14 abaasingisibwa emisango gy’okutega bbomu ezaakubwa mu kibuga Kampala mu 2010