Poliisi e Buikwe ekutte omukyala akubye bba emiggo egimusse .
Omukyala ono Margret Nanyonga akubye bba Tonny Kazibuye oluvanyuma lw’okufuna obutakkanya
Akulira poliisi ye Buikwe enonyereza ku buzzi bw’emisnago, Henry Ayebare, omukyala ono yavudde mu mbeera oluvanyuma lwa bba okumutabikira ekiro ng’ayagala mukwano
Omusajja ono bwebamugaanye yagezezzaako okukozesa eryaanyi olutalo nelutandika
Omukyala ono ng’olutalo lunyinyitidde yakutte omuggo gweyakubye bba ku mutw en’afa
Omukyala ono agambye nti teyagenderedde kutta bba naye yabadde yeetasa oluvanyuma lw’okutegeera nti alina siliimu ate nga yabadde tayagala kukozesa bupiira