Amawulire
Eyatta Bba Kkooti emuweereza ekibbaluwa
Bya Ruth Anderah,
Kkooti enkulu e Nakawa efulumizza ekibaluwa kibakuntumye omulundi ogw’okubiri eri Molly Katanga ne Muwala we Martha Nkwanzi avunaanibwa omusango gw’okutta bba Henry Katanga.
Kino kiddiridde Molly ne Nkwazi okulemererwa okussa ekitiibwa mu bbaluwa eyasooka ebalagira okweyanjula mu kkooti nga November 21st 2023 kigambibwa nti bombi baweebwa ebitanda mu ddwaaliro lya HIK ne Roswell Hospital.
Kati leero bombiriri basindise ekibinja kya bannamateeka babwe okuli Elison Karuhanga, Jet Tumwebaze ne Bruce Musinguzi okutegeeza kkooti nti Molly Katanga omusawowe yawadde amagezi okusigala wamulabira kuba embeera yobulamu bwe sinnungi olwomutwe nóbuvune bweyafuna ku bwongo ebimutawanya.
Olwo bannamateeka bano bawaddeyo ebbaluwa n’ebifaananyi ebiraga nti Molly yalongoosebwa olw’ebisago ebyo era nga tannatebenkera kugenda mu kkooti songa ne muwalawe Martha Nkwanzi yafuna obuzibu nga azaala abasawo naye ne bamusigaza
Bannamateeka bano wabula basuubizza okuleeta Molly ne Nkwazi amangu ddala nga bawonye.