Bya Ritah Kemigisa.
Akakiiko akakola ku by’empuliziganye aka Uganda communications commission kaliko amateeka amakali gekawade kampuni z’ebyempuliziganya , nga kino kigenderedwamu kukendeeza ku bakozesa esimu zino mubumenyi bwamateeka.
Kati bano basazeewo nti tewali agenda kukirizibwa kutembeeya oba kutunda airtime ne card z’amasimu okujako nga afunye olukusa okuva mu kitongole kino.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire,akulira akakiiko kano Godfrey Mutabaazi agambye nti kikanyizidwako nti anaasangibwa nga atunda airtime oba card ku makubo waakukwatibwa mu bwangu.
Kati bano bakaanyiza nti abatunda card balina okuba n’ebyuma ebisoma endaga Muntu era nga bikakasidwa akakiiko kano, songa ne company zaakutwala obuvunanyiziibwa bwona obunaava kubunafu bwabwe.