Bya Ivan Ssenabulya

Abagoba ba boda Boda basabye ssabapoliisi we gwanga, omugya Martin Okoth Ochola, okwongera amanyi mu byokwerinda nokulwanyisa obubbi bwa pikipiki naddala mu Kampala nebitundu ebyetoloddewo.
Ochola okulondebwa ngobubbi bwa pikipiki nokutemula abagoba nobutayibwa kwamanyi mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo.

Bwabadde ayogerako naffe, ssentebbe waba Boda Boda e Mukono Moses Musasizi, agambye nti okusinga pikipiki zibbibwa nebazisomosa okuzitwala mu Busoga, nga poliisi egwanag okuteeka amanyi ku myalo egyenjawulo.