Amawulire
Makerere batikkira- abazadde basabiddwa okusosowaaza eby’enjigiriza
Ettendekero ly’e Makerere liwereddwa amagezi okussa essira ku bintu ebinaavamu ensimbi mu pulaani zaalyo ezo mu maaso.
Kino kyakulisobozesa okufuna ensimbi ezinaddukanya emirimu egy’enjawulo ku ttendekero lino.
Omulanga guno gukubiddwa amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Prof. Mondo Kagonyera bw’abadde ayogerera ku matikkira g’abayizi i wali ku kasozi k’abayivu e Makerere.
Ategezezza nga kino bwekijja okuyamba okufulumya abayizi abalina obwongo obuyiiya enyo kibayambe n’okuyiiya ensimbi.
Abayizi 12,615 beebatikkiddwa zi diguli , dipulooma, PHD ne masters mu masomo ag’enjawulo.