Amawulire
Asobezza ku muwala ate omusajja atemyeeko nazaala omukono
Poliisi e Kamuli ekutte omusajja eyakkakkanye ku muwala we n’amusobyako okwesasula fiizi ze yamuwa okugenda ku ssomero.
Vincent Musiro omusomesa ng’atemera mu gy’obukulu 60, era omutuuze we Namwendwa Kamuli y’akwatiddwa.
Ono yayise muwala we owa siniya ey’okubiri mu kisenge kye n’amusobyako era olwakwatiddwa kwekutegeza ng’ono bw’amwononerako fiizi enyingi nga yabadde yeesasula.
Mu ngeri yeemu, poliisi e Bugiri eri ku muyiggo gw’omusajja ow’emyaka 29 eyakkakkanye ku Mukono gwa Nyazaala we n’agutemako
Ono yabadde agenze mu maka gano okuyamba okugonjoola obutakkanya wakati wa muwala we ne bba.