Ebyobulamu

Obulwaliro obutalina layisinsi bwakuggalwa

Ali Mivule

January 30th, 2014

No comments

Doctors

Ab’ekitongole ky’eddagala ekya National drug authority bakuggala obulwaliro bwonna obutalina layisinsi.

Akulira ekitongole kino Dr Gordon ssematiko agamba layisinsi zonna ziweddeko leero ng’omuntu yenna atalina layisinsi okuva enkya wakukwatibwa

Asabye n’abantu benyini obutagenda mu bulwaliro butalina layisinsi kubanga buba tebwekebejjeddwa

Mu ngeri yeemu aba KCCA bakutandika ekikwekweto okukwata abasawo ab’ebicupuli n’abalina obulwaliro obumenya amateeka.

Akulira eby’obujjajanbi ebyawamu mu KCCA Dr Daniel Okello agamba nti kampala alimu obulwaliro obusoba mu 1500 nga bwonna bagenda kubuyitamu