Amawulire
Ab’amaggye balongoosezza
Abajaasi mu maggye g’eggwanga olwaleero balongoosezza eddwlairo ekkulu e Mulago ng’egimu ku mikolo gy’okukuza olunaku lwa Tarehe Sita
Olunaku luno olubaawo buli nga 6 omwezi ogw’okubiri lukuzibwa okujjukira olunaku abaali abayekeera ba NRA lwebalumba enkambi y’amaggye ge Kabamba.
Eggye ly’eggwanga era liwerezza ne ba yingiya baalyo okuddabiriza aby’amasanyalaze byonna ebyaafa
Yye ekulembeddemu bannamaggye bano nga ye Col Mugenyi ssabiiti agambye nti ono yoo mu kawefube waabwe ow’okuddiza abantu.
Yye omwogezi w’eddwaliro lye Mulago, Enock Kusaasira agamba nti kino kyakuyamba okutereeza entambuza y’emirimu mu ddwaliro lino.