Ebyobulamu
Embiro e Hoima zikendedde
Minisitule ekola ku by’obulamu egamba nti obulwadde bw’embiro z’omusaayi e Hoima basobodde okubutangira okukwata abantu abalala.
Obulwadde buno obwabalukawo ku kyaalo kiyoola e hoima bwatta abantu 6 ate abalala nebaweebwa ebitanda
Omwogezi wa ministule y’ebyobulamu, Rukia Nakamatte agamba nti Ttebannafunayo Muntu afuna bulwadde buno bukyanga batandika okusomesa abantu ku ngeri y’okubwewalamu.
N’abo abaali bafuna embiro zino basiibuddwa