Amawulire
Ab’amaggye balongoosezza
Olunaku olwaleero amaggye gakoze bulungi bwansi nga era gatandikidde mu katale kewa kisekka gyebalongoserezza ebifo ebyenjawulo.
Bino by’ebimu ku bikujuko ebikulembedemu okukuza olunaku amaggye ga NRM lwegasooka okulumba Barakisi ye Kabamba nga 6 omwezi guno.
E Wa Kisekka wabula obwedda emirimu bagikola bafuna okucookozebwa okuva eria basuubuzi obwedda ababasaba bazannyemu mu ngeri y’ekisaazi
Embeera ebadde yeemu ne mu kibuga ky’entebbe abajaasi nayo bakedde kulongoosa ddwaliro ekkulu mu kibuga kino era nabo basigadde bacacanca
Olunaku luno lukuzibwa okujjukira abaali abayekeera lwebatandika okulwaana okwaleeta gavumenti ya NRM mu buyinza