Amawulire
Omuliro ku Banka-Ebyuuma byekuuse
Poliisi ekakasizza nti omuliro ku bbanka enkulu ey’eggwanga gwavudde ku byuuma ebyookya ssente enkadde okwekuuba
Akulira abaziinya mooto Joseph Mugisa agamba nti guno gwabadde mulundi gwakubiri mu myaka mukaaga ng’omuliro guno gubalukawo ku byuuma bino
Wabula ono agamba nti byonna byateredde nga n’emirimu kati gitambula bukwakku
Wabaddewo akasattiro mu banka eno eri ku luguudo lwa kampala , olunaku lwajjo, omuliro bwegwatandise kyokka nga poliisi yatuuse mu budde okuguzikiza.