Ebyobulamu
Mulemesa olutalo ku mukenenya
Akakiiko akakola ku kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya kalaze okutya olw’okuboolebwa lw’abalwadde ba mukenenya okweyongedde.
Bano babadde banukuula ku ngeri amawulire gyegabadde gakolebwaamu ku musawo RoseMary Namubiru agambibwa okugezaako okusiiga omwana omuto obulwadde bwa mukenenya.
Akulira akakiiko kano Prof Vinand Natulya agamba nti abantu bangi batandise okwebwaala okwogera ku bwebayimiridde mu nsonga za mukenenya ate ng’abalala eby’okwekebeza baabivaako
prof Natulya agamba nti engeri ensonga y’omukyala ono gy’ekwatiddwaamu eyolese okukosa olutalo ku bulwadde bwa mukenenya
Ono agamba nti okuva amawulire g’omusawo ono lwegafuluma, abasawo abangi n’abantu abalina mukenenya baboolebwa ekyolese okukosa olutalo ku mukenenya