Amawulire
Abavubuka ba NRM betemyeemu
Abavubuka mu kibiina kya NRM beetemyeemu ku by’okuwagira pulezidenti museveni.
Nga wakayita mbale ng’akulira abavubuka, Joseph Ssewava avuddeyo n’ategeeza nga bwebawagira museveni ate banne b’akulembera bamulumbye olw’okwetulikiriza n’aboogerera nga tebasazeewo
Abakulembeze b’abavubuka okuva mu masekkati,buvanjuba n’obukiikakkono bbo bategeezezza nga bwebawagira Amama Mbabazi ku bukulembeze bw’eggwanga era nga gwebalonda
Bano bakulembeddwaamu ow’omu bukiikakkono Omodo Omodo nebategeeza nga bwebagenda okuwenjeza Mbabazi akalulu kubanga ekibiina kyetaaga enkyukakyuka
Bbo ababaka mu kibiina kya NRM bagamba nti bakyayimiridde ku kyebasalawo nti museveni y’aba akwata bendera y’ekibiina.