Ebyobulamu
400 beebafuna mukenenya buli lunaku
Obadde okimanyi nti buli lunaku abantu 400 beebafuna ekirwadde kya Mukenenya.
Amyuka akulira ekibiina ekirafubana okutumbula ebyobulamu , Denis Kibira agamba abantu bangi baleese obugayaavu mu lutalo ku mukenenya olwo naye neyegiriisa.
Ono omusango agusalidde gavumenti olw’okulemererwa okuteekawo ebikozesebwa mu kukebeza siriimu.
Agamba amalwaliro ga gavumenti mangi agamaze kati emyezi 3 nga tegalina bikozesebwa mu kukebera siriimu.
Kibira agamba nti kino kisinze kukosa bakyala abali embuto nga tebasobola kukeberebwa oba olyawo abaana baabwe bataasibwe