Amawulire

Omufere Akwatiddwa

Ali Mivule

February 21st, 2014

No comments

senkumbi

Poliisi ekutte omusajja agambibwa okujja  obukadde 15  ku b’enganda z’omusawo avunanibwa okukuba omwana ow’emyaka 2 empiso ya siriimu nga abasuubizza omuntu wabwe okweyimirirwa awoze nga ava bweru.

Kob Mpango  yakwatiddwa olwaleero ku kooti enkulu oluvanyuma lw’abenganda bano okumusalira amagezi nebamukubira essimu olwo poliisi nemukwata.

Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano  Ibn Senkumbi ategeezezza nga ono bwabadde yeyita omukozi w’omumaka g’omukulembeze w’eggwanga era omukozi wa kooti enkulu nga abadde wakutaasa omusawo Roasemary Namubiru akadukulu yeyimirirwe .

Ab’enganda bano baatandisea okwekengera era nga bakulembeddwamu Aaron Sembogga  batukiridde poliisi nebemulugunya nga ono bweyali abagyeko obukadde 15.

Ssenkumbi agamba ono wakugulwako gwakwefuula kyatali n’okufuna ssente mungeri ey’olukujjukujju.

Ono alabudde abantu obutakolagana na bakayungirizi ku nsonga nga zino eza poliisi.