Ebyobulamu
Amalwaliro gazimbibwa
Enteekateeka z’okuddabiriza amalwaliro agatali gamu agali wansi wa minisitule y’ebyobulamu zitandise.
Omwogezi wa minisitule eno, Rukia Nakamatte agamba nti bamaze okukwasa ba kontulakita amalwaliro kano era ng’omulimu gutandise
Nakamatte agamba nti batandise nga kutereeza bifo awagenda kuzimbibwa amalwaliro gano n’oluvanyuma era boogereko n’abantu abayinza okukosebwa
Amalwaliro gano gagenda kusakirirwa ebbanja eryava mu banka y’ensi yonna
Malwairo agagenda okuganyulwaamu kuliko erye Moroto, Mityana, Nebbi, Anaka, Entebbe, Kirydongo, Moyo, Nakaseke ne Iganga.
Ono agamba nti basiibulayo obukadde bw adoola obulala 90 okuddabiriza amalwaliro 11 n’obulwaliro obuli ku mutendera gwa health center four nga buno bwakubeera 27