Amawulire
Ababadde bagema abaana battiddwa
Obulumbaganyi bwa bbomu obukoleddwa ku basawo ababadde bagema abaana mu ggwanga lya Pakistan bulese abantu 10 nga bafu
Bbomu eno ebadde etegeddwa mu kkubo awabadde wayita oluseregende omubadde abasawo abagema abaana obulwadde bwa Poliyo nga bava nju ku nju
Obulumbaganyi bw’ekika kino bubadde buludde okulabikako .
Tewali kibinja kyewaanye kukola bulumbaganyi buno yadde ng’abatalibaani abawakanya eby’okugema abaana kiteberezebwa okuba nti beebakikoze