Ebyobulamu
Wayini bw’ayitirira mubi
Abantu bangi bagaala okunywa ku ka wayini mu biseera byaabwe eby’eddembe.
Naye okimanyi nti yadde wayini ono mulungi naye bw’omuyitiriza kiba kibi.
Abasawo bagamba nti omuntu yenna talina kusukka giraasi za wayini bbiri lunaku.
Omusawo mu ddwaliro e Mulago, Dr Charles Kasozi agamba nti omwenge gwonna bweguyitirira guttattana ebitundu by’omubiri ebitali bimu.
Dr Kasozi agamba nti wayini naddala omumyuufu asobola n’okuvaako okuzimba enyama mu nyindo abantu kyebayita Sinuses