Ebyobulamu

Eby’abasawo tubikolako

Ali Mivule

March 4th, 2014

No comments

Eby’omusaala gw’abasawo e Kalangala abassizza wansi ebikola nga beekalakaasa ekolebwaako.

Abasawo bano beedimye nebagaana okukola nga bagamba nti babanja emyezi mukaaga ate abamu bbo basasulwaako bitundu.

Akulira ekitongole ekirondoola entambula y’eddagala mu malwaliro ga gavumenti Dr Dina Atwine agamba nti bazzeemu okwekenneenya enkalala okusasulirwa abakozi okulaba nti tebalwaawo kusasula basawo bano.

Ono agamba nti bagala kulaba nga bakungaanya ebikwata ku akawunti namba z’abasawo bonna zisindikibweeyo nga bukyaali basobole okuyambibwa.