Amawulire
Bawamba abantu nebabatta
Abasajja 2 ababadde bawamba abantu nebabanyagulula ate nebabatta bakwatiddwa
Robert Muwonge omuvuzi wa spesulo e Makindye ku petro city ne Sam Kitendwa beebakwatiddwa nga bagezaako okutta Samuel Ogwa okuva e Lira
Kigambibwa okuba nga ababiri bano balina ogubinja gwebakolagana nagwo nga bawamba abantu kyokka ate nebabatta n’emirambo gyaabwe nebagisuula mu bitoogo
Omwogezu wa poliisi mu kmapala n’emiriraano, Ibin Ssenkumbi agamba nti webabakwatidde nga bakabba emitwaalo 80 ku Ogwal era nga babadde bagaala kumutta kyokka nga yayise ku stage ya boda n’akuba enduulu olwo aba boda boda nebagoba emmotoka okutuusa lwebagikutte era bwebatyo nebamuwonya.